Monday, March 14, 2011

SOME LESSONS FROM THE ARTICLE BELOW?


THE ARTICLE IS IN LUGANDA (NO TRANSLATION)
Abajaluo bwe bati bwe baazimbanga amaka gaabwe nga mubaamu ekyagi ky’emmere.
MINISITA Israel Mayengo ng’amaze okukkirizisa Omuzungu okumuwa omulimu gw’okutembeeya empapula, yatalaaga Kenya n’atuuka ne ku Mujaluo eyamugabula obugenyi okwali n’ebiwala ebitiba yeeroboze. Obugenyi n’ebirala abirojja bwati:
OMUZUNGU ng’amaze okukkiriza okumpa amafuta, omulimu nagutandikirawo. Bampa amannya g’abaguzi bonna be baali baguzizza ku mpapula mu Kenya ne bampa ne ‘sampolo’ z’empapula.
Navanga e Nairobi nga buwungeera ne nvuga okugenda mu bibuga ebyesudde gye natuukanga ettumbi. Bwe namalanga okumanya be ng’enda okuguza ebitabo we bakolera, nga nfuna essundiro ly’amafuta we nasulanga mu mmotoka yange. Enkeera baabanga baggulawo nga nange ndi ku mulyango nga mbagambirawo nti nvudde mu ProostPaper e Nairobi.
Abayindi tebampanga mirimu nti balina we bafuna empapula ku ssente entono ate nga tebandagirirayo. Waliwo Omuzungu gwe naguza empapula ez’okuzingamu ovakedo, nga ye Anderson, ng’essamba ye eyitibwa Anderson Orchards. Yalina yiika 400 ez’emicungwa, yiika 400 eza ovakedo, yiika 400 eza ‘apples’ era ng’essamba ye eyitira ddala ku nsalo ya Uganda ne Kenya. Buli nnaku bbiri ng’atikka loole magulukkumi n’etwala ebibala ku kisaawe ky’ennyonyi e Nairobi. Ono obugagga bwe tebwali bwa kuteebereza era nga nnumwa kuba wano e Uganda ebimu byemeza byokka kyokka abantu bafa obwavu.
Omuzungu ono lumu y’ang’amba nti, Omuddugavu alivaayo n’amugamba nti essamba eno si yiye agenda kumugamba amulindeko mu ddiiro, aleete emmundu ye amukubire awo mu ddiiro. Yanneeyabizanga era buli lwe nabanga mbasiibula nga bampa ekibbo ky’emicungwa, ‘apples’ ne kkedo.
Olulala e Kisumu nakyama mu kalabo ndye ekyeggulo. Nasaba ensumaaki (engege) ne bagireeterako akawunga kyokka yali nnamba nga nkalirire wabula tebampa wadde otuzzi. Nalyako ngege yokka ne nsasula. Omujaluo yambuuza nti, ‘Wee Muganda? ne nzikiriza n’asanyuka nnyo n’ansaba nkyaleko ewuwe ne tugenda.
Abeewuwe beekanga nnyo emmotoka kubanga kyeraga nga nze mugenyi gwe baali basoose okukyaza eyalina emmotoka, era Omuganda eyasookera ddala okulinnya ekigere mu maka gaabwe. Muka nnyinimu yafumba akawunga n’amagi era nalya okulaga mwoyo omulungi ku ngeri gye bansanyukiramu. Okumanya obugenyi bwanyuma, omwami yang’amba nti ku bannyina ow’emyaka 16 n’omulala 18 nnondeko gwe njagala mmuwase! Obugenyi buno bwalimu ne bye nali siyinza kunyumiza mukyala wange.
Mu kibuga Kendu Bay, ku lubalama lwa Nalubaale ng’oyolekedde Tanzania, gye nasanga ekyapa ekikuba ebitabo nga kye kisinga byonna mu East Afrika. Kyali ky’Abadiventi nga kikuba ebitabo byonna eby’eddiini yaabwe mu Afrika. Bano baagulanga empapula loole nnamba. Mu myezi ebiri egyasooka ‘kaminsoni’ wange ow’ebitundu 5 ku 100 bwe twamugatta nga nsinza ‘Genero maneja’ omusaala. Bwe baalaba nga kiri kityo, ne bang’amba ntandike okwegulira amafuta naye ng’empapula ezitundibwa zeeyongedde nnyo.

NTANDIKA OKULWANYISA AMIN:
Okutembeeya kwali kulungi lwa nsonga ssatu. Esooka saaliko nampala ampa biragiro, nali nfuna akasente akamala omuntu ali ku ggwanga n’ekisembayo, gwali gunsobozesa okukola ebirala.
Essungu lye nalina ku Amin okuntuusa mu buwang’anguse, nali nteekwa okumulwanyisa. Wadde Senator Brock (ow’omu Amerika) yali ang’ambye nti nzireyo annyambe okufuna obutuuze, nneerema ne mmugamba nti, siyinza kuva mu Uganda nga sikasuse ku mayinja.
Nagenda mu kitongole gye bawandiisiza amakampuni ne mpandiisa kkampuni eyitibwa ‘Border Industries’ ne nsaba ofiisi ku kizimbe kya IPS ekya Agha Khan mu Nairobi. Bang’amba nti tebakkiriza kupangisa ofiisi etaweza kitundu kya mwaliro ate wateekwa okubaawo omuntu ansemba nga mukungu mu Diamond Trust. Oweekitiibwa Sam Ssebagereka yali dayirekita mu Diamond Trust n’ansemba.
Muno mwe twakung’aaniranga ne tukola ekibiina kya Uganda Nationalists Organisation (UNO) okuyeekera Amin era twatuuka ne Moshi. Ekibi, bannange abasinga be twatandika nabo kati bafu: Robert Serumaga (kitaawe w’oweekitiibwa Kalundi Robert Sserumaga), Baziriyo Numanya ne Charles Mpanga bannuma nnyo.
Ekibiina kyaggulawo ofiisi mu Kampala ng’ekulirwa Kawuka naye Amin yamutta tusigazza ennaku ntono tuwambe ng’akizudde nti abaketta. (Okumwebaza, naweerera abaana be bonna).
Okulaga nti Border Industries yali kkampuni nkozi ya mirimu, nagula ebyalaani nga 12 ne tutandika okutunga ebibikka ku typewriters nga mbiguza aba IBM. Buli typewriter gye baddaabirizanga, ezzibwayo n’ebibikako ereme kugendamu nfuufu.
Nnyiniyo bwe yasasulanga, nga nabo bansasula. Natunganga ensawo z’abakyala era kye nakolanga, nga mpandiikira abakola ensawo z’abakyala e Hong Kong nti twagala kubeera bagenti baabwe mu East Afrika, bwe bampeerezanga ebitabo by’emisono nga ngikoppa nga tukolamu ezaffe.
Twatungako n’enkofiira z’abaseriakle ne tuguza aba Salvation Army mu Kenya. Omulimu gwaffe guba gutojjedde, ne bayisa etteeka nti buli Munnayuganda alina okufuna olukusa okukolera bizinensi mu Kenya. Famire yange yonna yasaba pamiti naye tewali n’omu gwe baawa.
Buli lwaggulo twatuulanga ne bannange mu ofiisi yaffe mu IPS okusala amagezi g’okugoba Amin. Sserumaga nange twagendanga e Bulaaya okunoonya obuyambi mu Bazungu ne mu Bayindi. Nayitiranga wano ne ng’enda mu Amerika emirundi egyasukka mu kkumi.
Bannange baalondanga nze lwa kuba nti, ne bwe natuukangayo ne doola 10 nga nnina bannange bangi abampa entambula n’okulya. Ekyokubiri kyali kya butanywa mwenge.

(Ebirala birinde ku Ssande ejja nga bw’abinyumiza Margaret Ziribaggwa)
Published on: Saturday, 12th March, 2011

No comments:

Post a Comment